Acts 21

Pawulo Agenda e Yerusaalemi

1 aAwo bwe twamala okusiibulagana ne tuseeyeeya butereevu okutuuka e Koosi. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Rodise, we twava okulaga e Patala. 2 bOkuva awo twagendera mu kyombo ekyali kigenda mu Foyiniikiya. 3Ne tulengera ekizinga Kupulo, ne tukiyitako nga tukirese ku mukono gwaffe ogwa kkono, ne tuseeyeeya ne tugoba ku mwalo gw’e Ttuulo mu Siriya, kubanga ekyombo we kyali kigenda okutikkulirwa ebintu. 4 cBwe twava mu kyombo ne tunoonya abayigirizwa ne tubeera nabo ennaku musanvu. Mwoyo Mutukuvu n’ayogerera mu bayigirizwa abo ne balabula Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. 5 dEnnaku ezo bwe zaggwaako ne tusitula. Abayigirizwa ne bakyala baabwe n’abaana baabwe ne batuwerekerako okutuggya mu kibuga okututuusiza ddala ku mwalo. Awo ffenna ne tufukamira ne tusaba. 6Bwe twamala okusaba ne tusiibulagana. Ffe ne tuyingira ekyombo kyaffe, ne bannaffe ne baddayo ewaabwe.

7 eBwe twava e Ttuulo ne tugoba e Potolemaayi, ne tulamusaganya n’abakkiriza, ne tumala nabo olunaku lumu. 8 fEnkeera ne tweyongerayo okutuuka e Kayisaliya, ne tubeera mu maka ga Firipo Omubuulizi w’Enjiri, eyali omu ku badiikoni omusanvu abaasooka. 9 gYalina abaana be abawala abaali batannafumbirwa bana nga balina ekirabo eky’obunnabbi.

10 hNe tumalawo ennaku eziwerako, ne wajja nnabbi erinnya lye Agabo ng’ava Buyudaaya. 11 iBwe yajja okutulaba, n’addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu n’emikono, n’agamba nti, “Mwoyo Mutukuvu ayogera nti, ‘Bw’ati nannyini lukoba luno bw’alisibwa Abayudaaya mu Yerusaalemi ne bamuwaayo mu mikono gy’Abamawanga.’ ”

12Bwe twawulira ebigambo ebyo ffenna awamu n’abatuuze b’omu kitundu ekyo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. 13 jNaye Pawulo n’addamu nti, “Lwaki mukaaba n’okwagala okunnafuya omutima? Kubanga seeteeseteese kusibibwa kyokka, naye neetegese n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.” 14Bwe twalaba nga tekisoboka kumukkirizisa butagenda, ne tubivaako, ne tugamba nti, “Mukama ky’ayagala kye kiba kikolebwa.”

15Bwe waayitawo ennaku ntono ne tusiba ebintu byaffe, ne tusitula okulaga mu Yerusaalemi. 16 kAbamu ku bayigirizwa ab’e Kayisaliya ne batuwerekerako, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni, edda eyabeeranga e Kupulo era nga yali omu ku bantu abaasooka okukkiriza. 17 lBwe twatuuka mu Yerusaalemi abooluganda ne batwaniriza n’essanyu lingi nnyo.

Pawulo Akyalira Yakobo

18 mAwo enkeera ffenna ne tugenda ne Pawulo ng’agenda okulaba Yakobo, n’abakadde b’Ekkanisa y’omu Yerusaalemi bonna baaliwo. 19 nOkulamusaganya bwe kwaggwa, Pawulo n’abategeeza kinnakimu byonna Katonda bye yamukozesa ng’aweereza mu baamawanga.

20 oBwe baabiwulira byonna ne batendereza Katonda, naye ne bagamba Pawulo nti, “Owooluganda, omanyi ng’Abayudaaya nkumi na nkumi bakkiriza, era nga bonna bakakatira ku kimu nti Abayudaaya bonna wadde abakkiriza basaana okugoberera amateeka, n’empisa, n’obulombolombo, eby’Ekiyudaaya. 21 pBaategeezebwa nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu Bamawanga okuleka amateeka ga Musa baleme okukomola abaana baabwe wadde okugoberera empisa z’Ekiyudaaya. 22Kale kaakano kiki ekinaakolebwa? Kubanga awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti ozze. 23 qKale waliwo wano abasajja bana abali ku kirayiro, abateekateeka okumwa emitwe gyabwe nga beerongoosa. 24 rGenda nabo mu Yeekaalu weerongooseze wamu nabo, era obasasulire ensimbi ez’okumwa emitwe gyabwe. Kale buli omu ajja kukiraba era abantu bonna bajja kutegeera nti okiriziganya n’okukuuma amateeka, n’ebyo bye bakwogerako tebiriimu nsa. 25 sKu nsonga z’Abamawanga abakkiriza, twabawandikira nga tubagamba baleme kugoberera bulombolombo bwa Kiyudaaya n’akatono wabula ebyo bye twassa mu bbaluwa yaffe era bye bino; obutalya nnyama ya bisolo ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, n’obutalya ebitugiddwa oba okulya omusaayi, era n’okwewala obwenzi.”

26 tKu lunaku olwaddirira Pawulo n’atwala abasajja okwerongoosa, naye ne yeerongoosa nabo. N’ayingira mu Yeekaalu okutegeera olunaku ekiseera ky’okwerongoosa eky’ennaku omusanvu we kiriggweerako, olwo buli omu alyoke atwaleyo ekiweebwayo kye.

Pawulo Akwatibwa

27 uAwo ekiseera eky’ennaku omusanvu bwe kyali kiri kumpi okuggwaako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya ne balaba Pawulo mu Yeekaalu, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bakwata Pawulo 28 vnga bwe baleekaana nti, “Abasajja Abayisirayiri! Mutuyambe! Ono ye musajja agenda ayogera obubi ku ggwanga lyaffe ne ku mateeka gaffe ne ku kifo kino, ng’ayigiriza buli muntu buli wantu. Era ayonoonye Yeekaalu yaffe ng’agireetamu Abayonaani.” 29 wKubanga baamulabako ng’atambula mu kibuga ne Tulofiimo, eyava mu Efeso, ne balowooza nti Pawulo yamutwala ne mu Yeekaalu.

30 xEkibuga kyonna ne kijagalala olw’okuwulira ebigambo ebyo, era abantu ne bajja nga badduka okuva mu buli nsonda y’ekibuga. Ne bakwata Pawulo ne bamufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi. 31Naye bwe baayagala okumutta, amawulire ne gatuuka ku mukulu w’ekitongole ky’abaserikale Abaruumi nti Yerusaalemi kiguddemu akeegugungo. 32 yAmangwago n’asindika abaserikale n’abaduumizi baabwe, ne badduka okugenda eri ekibiina ky’abantu. Awo bwe baalaba omuduumizi n’abaserikale nga bajja, ne balekeraawo okukuba Pawulo.

33 zAwo omukulu w’abaserikale n’akwata Pawulo n’alagira asibibwe mu njegere bbiri, n’alyoka abuuza nti, “Y’ani, era akoze ki?” 34 aaNe bamuddamu nga baleekaana, ng’abamu bamugamba kino n’abalala nga bagamba kiri. N’alemwa okubaako ekiramu ky’aggyamu olw’okuleekaana okungi. Kyeyava alagira batwale Pawulo mu nkambi y’abaserikale. 35 abBwe yamutuusa ku madaala, ekibiina ky’abantu ne bayitirira obukambwe, abaserikale ne basitula Pawulo. 36 acEkibiina ky’abantu abaali bagoberera ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mumutte!”

Pawulo Ayogera n’Ekibiina

37 adAwo abaserikale bwe baali bagenda okuyingiza Pawulo mu nkambi yaabwe, n’asaba omukulu waabwe nti, “Onzikiriza mbeeko kye nkugamba?”

N’amuddamu nti, “Omanyi n’Oluyonaani?
38 aeYe si ggwe Mumisiri eyajeemesa abantu mu nnaku ezayita, n’okulembera abatemu enkumi nnya n’obalaza mu ddungu?”

39 afPawulo n’addamu nti, “Nedda, nze ndi Muyudaaya, ewaffe Taluso ekiri mu Kirukiya, ekibuga ekitanyoomebwa, era omutuuze. Nkwegayiridde nzikiriza njogere n’abantu bano.”

40 agAwo omuduumizi w’abaserikale kwe kumukkiriza, Pawulo n’ayimirira ku madaala n’akoma ku bantu basirike, amangwago ekibiina kyonna ne kisiriikirira, n’alyoka ayogera nabo mu Lwebbulaniya ng’abagamba nti:

Copyright information for LugEEEE